
Omusirikale wa police omu attiddwa n’omulala asigadde n’ebisago eby’amaanyi.
Obulumbaganyi buno bubadde ku ”checkpoint” ya police ku kyalo Kiwumpa, mu muluka gwe Kiwumpa , mu gombolola ye Luweero era mu district ye Luweero ku luguudo oluva e Kampala okudda e Ggulu.
Kigambibwa abasajja babadde babiri nebefuula abalina kyebebuuza ku basirikale ababadde bali mu kifo ekyo, nekiddiridde kutandika kutematema abasirikale ababadde n’emmundu nebazibaggyako nebadduka nazo.
Abasirikale bokunguudo abalala ababaddewo bataddeko kakokola tondeka nnyuma, nebekweka mu nsiko bataase obulamu.
Okusinziira ku kiwandiiko ekifukumiziddwa police, waliwo omusirikale omukyala adduse neyeyambula ”uniform” nagisuula ku ttale abatemu baleme kumulaba,era ono yaaweerezza bakama be obubaka ku ssimu ku bibadde bibaguddeko,nabo batuusr mangu okubataasa.
Ebyembi omusirikale omu PC Ronald Busingye Twinamatsiko asangiddwa avuddemu omusaayi mungi ng’afudde, ate munne PC Josephat Twinamatsiko ngaali mu mbeera mbi naddusibwa mu ddwaliro.
Okumpi newabadde obulumbaganyi buno wabaddewo emmotoka eyafiiriddewo ng’ebadde etisse kasooli, abatemu bagikumyeko omuliro.
Omuduumizi wa Police mu Luweero Livingstone Twazagye agambye nti bakitegeddeko nti abazigu babadde n’emmotoka gyebabadde basimbye ku ssomero lya Kiwumpa Church of Uganda primary school, era olumaze okubba emmundu nebeyongerayo.
Twazagye agambye nti tebagenda kutuula okutuusa nga bazudde emmundu ezibbiddwa abakyamu bano, nga batya nti zandikozesebwa mu bumenyi bw’amateeka