Abazigu b’emmundu baalubye ekitundu kye Kapeeka nebakuba omusirikale w’amagye Tufeeyo Obedi nebamutta, nabo omusirikale omulala n’abakuba amasasi agabasse.
Obulumbaganyi buno bubadde mu Kabuga ke Kapeeka mu district ye Luweero mu kiro.
Abazigu babiri bebagambibwa okuba nti babadde balumbye ekifo awategekeddwa ekivvulu ky’okusonderako ensimbi ezinaayambako abantu abakonkomalidde mu mawanga gaabuwalabu.
Ssenfuka Moses, ssentebe weggombolola eno eye Kapeeka, agamba nti abalumbaganyi baaliba nga babadde bagendereddemu kubba mmundu ya munnamagye ono, kyokka nti tebategedde nti abakuuma baabadde 2.
Ssenfuka era alabudde abateekateeka ebivvulu n’abagenda mu bitundu byabwe okukolayo emirimu okukwatagana obulungi naabakuuma ddembe mu kitundu, baleme okugendera ku biragiro bya baayise ba Above.
Kino kijjidde mu kiseera ng’obulumbaganyi ku bitebe bya police bweyondera, obubadde bukyasembyeyo bwabadde ku police ye Nankulabye mu Kampala.
Mu ngeri yeemu UPDF yazudde omu ku batemu abakkakkana ku mujaasi waalyo Sgt Simon Peter Eyagu, nebamukuba amasasi agamuttirawo nga 17 omwezi guno e Jinja mu nkambi y’amagye eya Gaddafi, nti naye amagye gaamusse eggulo.
Bisakiddwa: Ddungu Davis