
Emirimu gisanyaladde ku kooti e Mengo, eggaddwawo okusobozesa abakuuma ddembe okunoonyereza ku buzigu obwakoleddwa ku kooti eno mu kiro ekikeesezza leero.
Abazigu baalumbye kooti eno mu kiro ne bamenya wofiisi y’omuwandiisi wa kooti eno,ne wofiisi egatta kamputa zonna ezikozesebwa mu kooti eno, nebatwala ebiwandiiko ebitanakakasibwa muwendo n’ebintu ebirala.
Abasirikale abanoonyereza ku misango, omuli aba CID, bakyekennenya ekifo kyonna, ne Camera zabwe, okufuna webatandikira mukunoonyereza kwabwe.

Omwogezi wesiga eddamuzi Jameson Kalemani ategezeza cbs radio nti basazeewo okugira nga bayimirizamu emirimu gya kooti eno,okuwa abakuuma ddembe omwaganya okunoonyereza.
Abasibe ababadde baze okuwulira emisango gyabwe baziddwayo mu komera, n’abantu abalina emisango gyebaawaaba okuli n’abakakiiko ka Anti Corruption Unit balagiddwa okudda olulala nga kooti ezeemu okukola.
Bisakiddwa: Lubega Mudasiru