Gaddaffi millitary barracks yerumbiddwa abazigu, basse omusirikale gwebasanze ku mulyango, nebabba n’emmundu bbiri.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa UPDF nga kisiddwako omukono gw’omwogezi wabwe Brig.Gen.Felix Kulaigye, kiraze nti omujaasi attiddwa ye Sgt Eyagu Simon Peter.
Eyagu yabadde ateereddwawo ne munne Lt/cpl Kibirige Norico okukuuma omulyango omutono oguli ku Ambercourt road oguyingira mu nkambi ya Gaddaffi e Jinja.
Kigambibwa nti abazigu balabirizza Kibirige nga yewunguddemu era nga naye emmundu abadde agirekedde munne, olwo nebagwira Eyagu nebamutta nebakuuliita n’emmundu bbiri kika kya SMG.
RCC wa Jinja City Darius Nandinda ayise olukiiko olwamangu olw’abakulira eby’okwerinda n’abakulembeze abalala okusalira awamu amagezi ku bumenyi bw’amateeka obweyongedde mu kitundu.
Bino webigidde nga police yakazuula emmundu yaayo eyabadde ebbiddwa ku musirikale mu nkambi y’e Kireka, wabula olw’olubale olwatuusiddwa ku omu ku bazigu Onekalit John, emmundu yagisudde mu kabuyonjo naddukira mu ddwaliro okufuna obujanjabi.#