Abazigu ababadde nebijambiya balumbye omukozi wa Mobile Money nebamutematema n’ebijambiya,wamu n’abadde egenze okiggyayo sente naye bamutemye nazo nebazimubbako.
Obukumbaganyi buno bubadde ku kyalo Kyangatto Kalagala mu district ye Nakaseke mu kiro ekikeeseza olwaleero, saawa nga 4 nekitundu.
Abatemeddwa bakubye omulanga ogusoombodde abaddukirize, bakuttemu omu agambibwa okubeera mu kabinja kábazigu bano akagambibwa nti babadde 5, bamukubye nebamuttirawo.
Abatuuze abeerabiddeko nagaabwe bagamba nti police ye Nakaseke egenze okutuuka nga abatemeddwa bataawa, era beesoose okuddusa mu ddwaliro lye Nakaseke okutaasa obulamu bwabwe.
Omulambo gwateeberezebwa okubeera omuzigu ekomyewo nagwo neguggyawo ku ssaawa nga mukaaga ez’ekiro.
Police ye Nakaseke etandikiddewo omuyiggo ku kabinja kano akabadde kalumbye ekitundu.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif