Abayizi b’amasomero okuva mu ggombolola ez’enjawulo mu masaza; Kyaddondo, Busiro ne Kyaggwe, bakiise embuga mu nkola eya Luwalo Lwange nebagula satifikeeti za nsimbi obukadde 17 n’okusoba.
Agamu ku masomero ageetabye mu Luwalo Lwange mubaddemu Blessed Nursery and primary school Kisigula, Winterland primary school Kawempe, God’s Mercy Nursery and primary school Kaliiti,White Angels Nursery and primary school Wakiso, Winterland Junior school Kira, Young Christian school Mutundwe, Kitale community school Kasawo Mukono, Mother care preparatory school Mutundwe, Makerere secondary School, St Mary’s SS Kyebando naamalala.
Amasomero gano gavudde mu ggombolola okuli Mumyuka Wakiso-Busiro, Mutuba V Kawempe-Kyaddondo, Ssaabagabo Lufuka-Kyaddondo.
Katikkiro Charles Peter Mayiga y’abatikkudde oluwalo ku mbuga enkulu Bulange Mmengo.

Katikkiro asabye abazadde okutendeka abaana ebintu eby’omugaso nga bakyali bato, bakule nga balimu ensigo enaavaamu eby’omuganyulo nga bakuze.
“Muteeketeeke abaana, naye temubategekera, Omwana omutegeke awa muzadde we essanyu ery’obukadde”Katikkiro
Abayizi basabye Katikkiro nti okutuusa obubaka bwabwe eri Omuteregga asiime bamukyalireko, era naye abasuubizza nti obubaka wakubutuusa, nti wabula balina okuba abagumiikiriza nti kubanga Omutanda yalina okusiima.

Nakateete Anita omuyizi ku Mother Care Preparatory School e Bunnamwaya ayogedde ku lw’abayizi yeeyanzizza nnyo Ssaabasajja okusiima, n’abo ng’abaana abato ku mulembe guno Omutebi okuyigirizibwa eby’obuwangwa byabwe n’asuubiza okukola obutaweera okugoberera enteekateeka z’obwakabaka zonna.
Minister Omubeezi woa government ez’ebitundu era avunaanyizibwa ku ntambula za Ssaabasajja n’abantu ba Kabaka abali ebweru wa Buganda Owek. Joseph Kawuki asabye abasomesa okujjumbiza abayizi abalenzi okwenyigira mu nteekateeka zonna essira baleme kulissa ku bawala bokka.

Owek. Kawuki y’akwasizza abayizi bano satifikeeti zabwe.
Abayizi basanyusizza abantu ba Kabaka mu nnyimba n’ebitontome ebijjudde obubaka obuyigiriza okwagala eggwanga lyabwe, olulimi n’okwetangira obulwadde.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo Kiwanuka.