Olusoma lwokusatu oluggalawo omwaka guno 2022 mu butongole lutandise olwa leero, wabula abayizi abamu tebanafuna ssuubi lyakuddayo kusoma.
Luno lwe lusoma olusalawo abayizi okuva mu kibiina ekimu okudda mu kirala.
Wabula waliwo okutya nti abayizi abamu boolekedde obutaddayo ku masomero, olw’ebisale ebiri waggulu, n’ebbeeyi y’ebintu eyekanamye.
District Khadhi wa Mukono ne Buikwe Sheikh Shazir Lumala agamba nti ebbeeyi y’amafuta egaanye okusalikako n’emisolo egibinikibwa amasomero, byolekedde okuviirako omuwendo gw’abayizi abawanduka mu masomero okweyongera.
Sheik Lumala agambye nti amasomero gonna okutwalira awamu gaayongezza ebisale, kyokka enfuna y’abazadde ekyali wansi, abazadde abamu kyebasazeewo kulagira baana eby’okusomesa bagire nga babiwummuzaamu.
Sheikh Lumala alumirizza nti amasomero g’obwannannyini gegasinga okutwala omuwendo gw’abayizi omunene, ng’ate gayimiriddewo ku ‘schoolfees’, n’olwekyo kiba kizibu obutongeza bisale ebyo ng’ate ebintu byegakozesa n’emisolo byongera kwekanama.
Amasomero agamu gakkiriza omuyizi okutandika okusoma ng’amazeeyi ebisale by’essomero byonna 100%, so ng’agamu gasaba wakiri ebitundu 50%.
Kinajjukirwa nti mu lusoma oluwedde amasomero agasinga obungi gaaggalawo nga wakyabula ekiseera, olw’ebbeeyi y’emmere eyali yekanamye nga tegakyasobola kuliisa bayizi.
Okuva olwo ebbeeyi y’emmere naddala akawunga n’ebijanjaalo tesalikangako saako amafuta byonna byeyongera kulinnya.
Kilo y’akawunga eri wakati wa shs 4000 – 4800, ebijanjaalo biri wakati wa shs 3800 – 4500, so ng’amafuta liita etandikira ku shs 6500 okudda waggulu.
Guno omwaka gwegugenda okusooka abayizi okusoma nebagumalako bulamba, bukyanga kirwadde kya Covid 19 kibalukawo amasomero negaggalwa okumala emyaka 2.