Parliament eyisizza ennongosereza mu mateeka agakwata ku ntambuza y’ensimbi agagenderera okulwanyisa abavujjirira ebikolwa eby’obuttujju, mulimu n’ebibonerezo eri abenyigira mu bikolwa bino.
Mu mateeka gano kuliko erya Anti Terrorism Amendment Act 2022; omuntu yenna eneenyigira mu bikolwa ebivujjirira obutujju, kkooti n’emusingisa omusango wakusibwa ebbanga lyamyaka 20, oba okutanzibwa obukadde bwa shs 9 oba okukola ebibonerezo byombi.
Parliament bw’ebadde eyisa ennongosereza mu tteeka lino, omubaka wa Bugiri municipality Asuman Basaalirwa alabudde government, okukomya okukozesa amateeka agakwata ku butujju okuvunaana abantu abagivuganya.
Wabula Ssaabawolereza wa government Kiryoowa Kiwanuka agambye nti government ya NRM terina munnansi yenna gweyali, yadde gweteekateeka okusibako emisango gy’obutujju olwenjawukana ze mu byobufuzi.
Mu mwaka 2006 government yassa omukono ku ndagaano eyomukago gw’ensi yonna ogwa Financial Act Task Force, ng’omukago guno gwegulwanyisa ebikolwa byovugirira obutujju.
Wabula okuva olwo government yakuno ebadde tekolanga nnongosereza mu mateeka gakuno, ebyakaanyizibwako ba memba bannamukago ebisse mu nkola.
Uganda omwezi ogujja ogwa Septemer ebadde eyolekedde okussibwako ekkoligo naddala erikwata ku kukutamvuza ensimbi.
Kibadde kigenda kubeera kizibu okutambuza ensimbi okuva mu Uganda okudda mu ggwanga eddala, nokuva e bweru wa Uganda okujja mu Uganda ,olwokulemererwa okukola ennongosereza mu mateeka agalwanyisa okuvujjirira ebikolwa ebyekitujju.