
Abayisiraamu basabiddwa okunywerera mu kukkiriza n’okwewala ebikontana n’eddiini, bwebaba bakutuukiriza empagi zonna ettaano ez’obusiraamu.
Empagi zino ettaano kuliko ey’okukkiriza nti Allah ali omu, okusaala esswala etaano buli lunaku,okusiiba omwezi gwa Ramathan,okutoola Zakati mu mmaali yo, n’okulamaga e mecca okukola Hijja.
Okusaba kuno kukoleddwa ssenkulu w’ekitongole ekitwala abalamazi okukola Hijja ki Zam Zam Hijja and Umra Sheikh Yusuf Kayongo, bwabadde yeetabye mu kusaala Shukuru ey’Okwebaza Allah olw’okusobozesa Omuweereza ku CBS Hajati Madiina Naddamba Kabuye, okutuukiriza empagi ey’obusiraamu eyokutaano eya Hijja.

Omukolo gwa shukuru gubadde mu maka gabwe e Kavumba Wakiso.
Sheikh Yusuf Kayongo mu bubakabwe yeebazizza Hajati Madiina okufuba naatuukiriza obweyamo eri Allah, kyokka naasaba abasiraamu okwewala buli kikontana n’Obuyisiraamu.
Ssenkulu wa Radio CBS Omuk Michael Kawooya Mwebe ng’akiikiriddwa Omuk Haji Abbey Mukiibi akulira ebiweerezebwa ku Mpewo za CBS, atenderezza Hajati Madiina olwoobukozi n’Okwagala Allah.
Munnamawulire w’essiga lya Kisuze mu kika ky’e Mmamba Haji Najib Luwandagga Ssalongo asabye kampuni ezitwala abantu ku Hijja ne Umra, okulekeraawo okusaba abalamazi ensimbi mu dollar ezibatwala okulamaga nti zibatiisa.
Abawadde amagezi nti omutemwa ogwo baguzze mu nsimbi za wano eza shilling abantu bazitegeere bulungi.
Hajati Madiina Naddamba omujaguza, yeebazizza Allah okumusobozesa okugenda okulamaga n’Okudda nga mulamu, mungeri eyenjawulo neyeebaza Obwakabaka bwaweererezaamu olw’okumuwa omwagaanya.
Omukolo guno gwetabiddwaako district khath we Wakiso Sheikh Kasimu Ssengonzi ,abakungu mu Rotary International, abaweereza ku Radio ya Ssabasajja CBS, n’abantu abalala bangi.
Ebifaananyi: Musa Kirumira