
Abatuuze mu muluka gwa Kawempe II mu gombolola ye Kawempe, bakkirizaayo okuwaayo ettaka lyabwe babakolere oluguudo oluyita mu kitundu ekyo.
Oluguudo luno olumanyiddwa nga olwa Zadooki olugenda okutekebwako kolasi, luva ku Vegas Chill out e Ttula, nerwetooloola okutuuka mu kabuga ke Nammere nerugatta kulwe Buwambo.
Mayor we Kawempe Sserunjoji Emmanuel Ow’eddembe asisinkanyemu abatuuze mu zone ye Nammere ne Mugalu ku nteekateeka eno, olukiiko lugenze okuggwa nga bakkiriza oluguudo luno oluyita mu bibanja byabwe lukolebwe,awatali kuliyirirwa.
Mayor Sserunjoji atongolezaawo enteekateeka y’okutandika okukola oluguudo olwo, luyibweko kkolaasi.

Abamu ku batuuze bategezezza nti oluguudo lwabwe singa luyibwa kolaasi, lwakwongera omutindo ku kitundu kyabwe n’okuwona ebinnya.
.Nga bakulembeddwamu abakulembeze babwe omubadde Omwami Kasiribiiti atwala omuluka ogwo abatuuze basiimye Mayor, era mu kusaakaannya bamusuubizza obuwagizi mu 2026 ku kifo kyonna kyalyesimbamu.
Omwami Kibuze John kulwa Ssentebe wa Nammere, yebaziza Oweddembe okutuukiriza ekisuubizo kyeyeyama ng’anoonya akalulu ka 2021 eky’okubakolera oluguudo mu kitundu kyabwe.

Enteekateeka y’abatuuze okukkiriza okubakolera enguudo mu bitundu nga tebasoose kubaliyirira egenze yeyongera amaanyi.
Abatuuze be Busaabala mu Ssaabagabo Makindye bebamu ku baawaayo ekitundu ku ttaka lyabwe babakolere oluguudo olwali lumaze ekiseera ekiwanvu nga babasuubiza okuluyiwako kkoolasi, naye nga bisigala mu bisuubizo.
Mu kiseera kino oluguudo lwe Busaabala nalwo lunatera okuggwa.