Omumyuka wa Sipiika wa Parliament Thomas Tayebwa alagidde abaddukanya eddwaliro ly’abalwadde ba Kkookolo e Mulago, banoonyereze ku bigambibwa nti waliwo abasawo abasindika abalwadde mu bulwaliro obw’obwannannyini okugula eddagala nti so nga government ebawa eddagala erimala.
Tayebwa yennyamidde ku nsonga eno n’agamba nti abaddukanya eddwaliro lino tebasaanidde kunyigiriza balwaddena kunoonya ddagala.
Mu mbeera eno Tayebwa ayagala government ebeeko amateeka geq1reeta agalambika n’okuluŋŋamya ku ddagala erimu mu ggwanga naddala ery’obulwadde bw’olukonvuba.

Prof William Bazeyo, ssentebe wa bboodi y’eddwaliro lino agambye nti kituufu balina abalwadde bebasoloozaako ssente, wabula abo bokka abasaba obujjanjabi obwenjawulo (private).
Bazeyo agamba nti n’obusenge obwa private sibwabuwaze, kyokka waliwo era obuweereza obumanyiddwa nti bwabwereere eri abalwadde bonna omuli okukebera, okukubibwa ebifaananyi, okukalirirwa mu kyuma n’eddagala lya Chemotherapy.
Mu ngeri yeemu Prof Bazeya agamba nti tewali nsimbi zisasuzibwa kulaba musawo, nti kubanga enteekateeka y’okulaba omusawo (Consultation) ya bwereere.
Mu ddwaliro lino basoomoozebwa ekifo ekifunda ekivaako n’abamu ku balwadde okwebaka mu nkuubo n’abalala okwegattika mu waadi ezimu awatali kwawula bakazi ku basajja.
Wabula ssenkulu w’eddwaliro lino Dr. Jackson Orem, agamba nti ebbula ly’ensimbi ligootaanyizza nnyo entambuza y’emirimu gyabwe, n’okutuusa obuweereza obutuufu ku banna Uganda bonna ababwetaaga.
Orem agamba nti okuggyako nga bafunye amatabi g’eddwaliro lino mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo , ensonga y’omujjuzo kikyali kizibu kineno nnyo eri eddwaliro ekkulu e Mulago.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo.K