Abavubi ku Nyanja Nalubaale mu bitundu bye misoonzi bakeeredde mukusoberwa, bwebasanze ensaqo z’amanda ezisoba mu 100 ziteengejjera ku nnyanja, bateeberebwa wandiba nga waliwo abantu abaaguddemu.
Abavubi okuva mu nsonda ezitali zimu bakungaanye nebatandika kumuyiggo gw’okuzuula eryato n’abantu abayinza okuba nga baagudde mu mazzi. Mu kiro.
Wabula tewali yazuuliddwa, so nga ggo amanda bagakungaanyizza nebagannyulula mu mazzi.
Bisakiddwa: David Kiyengo