
Amaggye ga UPDF , Police ne bitongole ebyókwerinda ebirala bikedde kuyiibwa ku Akamwesi Mall esangibwa ku Kalerwa mu Gombolola ye Kawempe, ewabadde wagenda okutuuzibwa council.
Enteekateeka yólutuula lwa Council ye Gombolola ye Kawempe ebadde etegekedswa abakulembeze baayo okutangaaza ku mbeera n’enzirukanya ye mirimu mu kitundu kyabwe eyatuumidwa State of Kawempe Adress.
Okwogera kwa bakulumbeze be Kawempe kubadde kutegekedwa wamu nómwoleso ogugendereddwamu okulaga ebintu eby’enjawulo ebikolebwa mu gombolola eyo.
Wabula kigambibwa nti abasirikale bayiiridwa okuva mu kiro ekikesezza olwa leero, era tewali muntu yenna akkirizibwa kuyingira mu Mall eno.
Amyuka omwogezi wa Police mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigire agambye nti abategesi b’omwoleso guno baalemedwa okufuna olukusa okuva ewómuduumizi wa Police ye ggwanga Martin Okoth Ochola.
Mayor we Gombolola ye Kawempe Emmanuel Sserunjogi Oweddembe agamba nti Police saako abebyókwerinda bonna mu kitundu baategezebwako mu budde ku nteekateeka eno, neyewuunya ekibaleetedde okulinnya eggere mu mirimu gyabwe.