
Abasawo abakyali mu kugezesebwa mu kibiina ekya Uganda Medical Interns United, basitudde buto enkundi ku kubanja emisaala gyabwe.
Bagamba nti bannabwe abamu tebasasulwa so nga naabamu tebafuna sente ntuufu zebalina kufuna, wadde nga president Museven yayisa ekiragiro nti abasawo n’abajjanjabi bonna basasulwe.
Abasawo bano baasooka kwediima nga bemulugunya ku musaala omutono gwebaali bafuna gwali wakati w’emitwalo 750,000/= – 900,000/=, nti so nga baali bakola nnyo.
President Museveni yalagira nti abasawo abakugu bongezebwe emisaala okutuuka ku bukadde 5, abakyagezesebwa basasulwe obukadde 2 nékitundu, nómusolo bagibweko ebitundu 10% zokka.
Ate bbo abasawo abajjanjabi n’abazaalisa (Nurses and Midwives), baakusasulwa obukadde 4, 800,000, nga abakyagezesebwa balina kufuna obukadde 2,400,000/=.
Abasawo bano mu kibiina kyabwe ekya Uganda Medical Interns United,batuuzizza oluku𝝶aana lwa bannamawulire ku ddwaliro e Mulago nebategeeza nti abasawo ku mutendera gwobwa Doctor ba Interns bagibwako omusolo ebitundu 30%, nebasigaza omusaala gwa kakadde 1,800,000/= mu kifo ky’okufuna obukadde 2,250,000/=
Mu ngeri yeemu abasawo abazaalisa nabajjanjabi nti bbo basasulwa akakadde 1,500,000/- mu kifo kyóbuykadde 2, 400,000/= era nti tebamanyi lwaki ezo zebafuna.
Dr. Mutebi Leonard, president wabasawo bano agambye nti kyebagala ye ministry y’eby’obulamu ebatwala neya public service, okuteekesa mu nkola ekiragiro kya president eyalagira nti bakendezebweko emisolo basasule ebitundu 10%.
Mu ngeri yeemu bawakanyizza n’enteekateeka y’akakiiko akavunanyizibwa ku kulu𝝶amya abasawo mu ggwanga aka Uganda Medical and Dental practitioners Council,eya ba intern okusookanga okuwebwa ebigezo nga tebanagezesebwa nébwebanabanga bamalirizza.
Ate bbo abasawo abaludde nga bajanjaba bakuwebwanga ebigezo buli luvannyuma lwa myaka etaano, okubasobozesa okuzza obujja layisinsi zabwe.
Mu nsisinkano eno mubaddemu abasawo abalala oku Nabidda Shamim, Amyuka Vice President wabasawo bano, Derrick Mugume, Speaker w’olukiiko lw’abasawo bano mu kibiina kya Uganda Medical Interns United, Dr Muwonge Jabura ssabawandiisi w’ekibiina, ne Nurse Kigozi Edwin, akiikirira abasawo abajjanjabi nabazaalisa.
Bagamba nti government singa tekoma kukola nsobi eziddingana kyakwongera okukosa obuweereza obwenjawulo.
Bisakiddwa: Ddungu Davis