Abasuubuzi abakakkalabiza emirimu gyabwe munda mu Makerere University bagiwawabidde mu kkooti enkulu, nga bawakanya ekyokubagobaganya nga tebaweereddwa mwagabya kwewozaako.
Ku ntandikwa y’omwezi guno ogwa July olukiiko olufuzi olwa Makerere University nga lukulemberwamu amyuka vice Chancellor Henry Arinaitwe, lwalagira abasuubuzi bonna abakakkalabiza emirimu munda mu ssettendekero okugyamuka mbagirawo awatali kuwa nsonga yonna.
Nga bayita mumunnamateeka wabwe Precious Nahabwe bagala kkooti esooke eyise ekiragiro ekiyimiriza mbagirawo okugobwa kwabwe, nti kubanga tekuli mu mateeka naddala mu kiseera kino nga kkooti ziri muluwummula.
Baagamba nti ekya University okubagoba awatali kunnyonyolwa nsonga yonna, wadde okubayita okwogerezeganya n’abakulira ssettendekero kyakolebwa mu bukyamu.
Abasuubuzi bano nga bakulemberwamu Ssentebe wabwe Julius Gumisiriza bagala kkooti ekake university okwogeraganya nabo okuddamu okulambika ebifo mwebakolera, nti kubanga bangi bayina amabanja mu bbanka so ng’ate babadde basasula bulungi n’ensimbi zoobupangisa.
Abasuubuzi abakoseddwa mulimu abalinamu ebirabo by’emmere, ebyuma ebyokya empapula n’abalala.