
Abantu bana bakwatiddwa mu Kampala n’emiriraaano ,bayambeko police mu kunoonyereza ku ttemu eryakolebwa ku eyali akulira abakozi mu district ye Bukwo Charles Ogwang.
Ettemu lino lyaliwo nga 8 July, 2022 ku kyalo Kiryowa okumpi n’essundiro ly’amafuta erya Banu Petrol Station mu bitundu byé Matugga.
Omu ku bakwate ye Erick Chemusto abadde dereeva w’omugenzi.
Kigambibwa nti mukamaawe yakwata mmotoka naayolekera district ye Lira mu kiro mweyattibwa, ddeereeva násigala nga yebase mu Liberty Guest House e Kireka.
Okunoonyereza okwakazulwawo kulaga nti CAO nga tannattibwa, yasoose kubaako mirimugye gyakola mu bitundu omuli Mukono, Kireka ne Kisaasi, era olwagimaze natandika olugendolwe.
Okunoonyereza kuzudde nti CAO ngaali mu lugendo lwe, abakwata mmundu baamuyimirizza nebamubuuza ebimukwatako, era olwabibalaze nebamusasira amasasi 26, oluvannyuma mmotoka gyeyabaddemu No. Ug 0865 z nebagikumako omuliro nga bwebakwata nákatambi oluvannyuma nebabulawo.
Ayogerera police mu ggwanga Fred Enanga, ategeezezza bannamawulire ku kitebe kya police ekikulu e Naggulu, nti byebakazuula biraga nti obulumbaganyi buno bwabadde bupange.
Kigambibwa nti waliwo abantu aberabiddeko ngéttemu lino likolebwa, nti abatemu buli kyebaabadde bakola baakikutte ku katambi, wabula nga zzo camera eziri kun nguudo zaakoma okukwata emmotoka ya CAO mu bitundu by’e Kawempe, endala eziddirira okutuuka ku mabanda gyeyattibwa tezaamukwata era tezirina kyeziraga.
Mu ngeri yeemu police eragidde abaduumira police mu bitundun okukwata abakuuma ddembe bébitongole byóbwannanyini, abakaalakaala némmundu bazibaggyeko.
Kigambibwa nti abazzi bémisango babadde basusse okusooberera abakuuma ddembe abo, nebabanyago emmundu, nebagenda bazikozesa mu bikolobero ebyenjawulo.
Bisakiddwa; Kato Denis