Unit zoomusaayi 2631 zezaakakunganyizibwa abantu ba Ssaabasajja Kabaka mu Ssaza Bugerere mu nnaku 2 eziyise.
Enteekateeka eno ekulemberwa ekitongole kya Kabaka Foundation , era nga Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yasiima enteekateeka eno ebume mu masazage gonna, neekigendererwa ekyokulwanyisa ebbula ly’omusaayi mu ggwanga .

Okusinziira ku Ssenkulu wa Kabaka Foundation Omukungu Edward Kaggwa Ndagala, omusaayi unit 2631 zakakunganyizibwa mu Gombolola 2 okuli Mumyuka Kayunga ne Mut 1 Nazigo.
Olunaku olwaleero olwa wednesday enteekateeka eno eri mu Gombolola ya Mutuba lll Busaana , era asabye bannabusaana okugenda mu bungi bagabe omusaayi.

Amyuka omubaka wa President mu district eye Kayunga Mawule Simon Peter asabye baana Bugerere okwongera amaanyi mu Kugaba omusaayi okuteeka mu nkola ekiragiro gya Ssabasajja Kabaka .
Bikungaanyiziddwa: Nakato Janefer