
Abantu 9 babakakasiddwa nti bebaafiiridde mu kabenje ka mmotoka, akagudde ku luguudo oluva e Kampala okudda e Luweero.
Akabenje kano kaagudde ku kyalo Sinalya Bombo- Kalule, mmotoka ya taxi No.UBD 850J eyabadde ewenyuuka obuweeko, yayabise omupiira neyefuula emirundi egiwerako.
Taxi bweyefudde yayambalaganye n’emmotoka endala Isuzu UAH 316 P eyabadde etisse amayinja.
Omwogezi wa police Faridah Nampiima ategezezza nti abantu 7 baafiiriddewo mbulaga, ate omulala nga mukyala yafudde addusibwa mu ddwaliro e Mulago.
Omulala afudde leero awezezza omuwendo gw’abantu 9 abafiiridde mu kabenje kano.
Kuliko abakyala 7 n’abasajja 2.