Okuwandiika abayingira eggye lya UPDF e Busoga kugenda mu maaso,wabula abawerako basuuliddwa olwóbutaba na bisaanyizo.
Enteekateeka eno eyindira ku kisaawe e Kakindu mu Jinja.
Abavubuka 4000 bebagenze okusunsulwa, wabula nga UPDF eyagalako 212 bokka.
Omwogezi wa UPDF owékibinja ekisooka Major Charles Kabona agambye nti abawandiisiddwa bavudde mu district ssatu okuli Kayunga, Buvuma ne Jinja.
Afande Kabona agamba nti bangi abawanduddwa okuli abawala n’abalenzi babadde tebalina buyigirize bwetaagisa, abalala tebalina ndaga muntu, so nga nabamu embeera yóbulamu bwabwe tebakkirizisa kuyingira magye.