Abakulembeze b’amawanga agenjawulo baweerezza obubaka obw’okukungubagira Nnaabakyala wa Bungereza Queen Elizabeth II eyafudde olunaku lwajjo.
Okutwalira awamu bamwogeddeko ng’omukulembeze ow’enjawulo, ow’ekisa, ayagala buli muntu era abadde eky’okulabirako eri ensi yonna.
President wa America Joe Biden mu bubaka bwe amwogeddeko ng’omukulembeze eyafuula enkolagana ya America ne Bungereza eyenjawulo.
Mu ngeri yeemu, Biden emyaka 40 agamba nti emyaka 40 egiyise lweyasooka okusisinkana Nnaabakyala Elizabeth II yamwogerako ng’omukulembeze w’Obwakabaka ow’enjawulo eyali tayinza kwerabirwa mu migigi gyonna.
“Queen Elizabeth II is more than a monarch – she defined an era” Biden
President wa France Emmanuel Macron naye ayogedde ku Queen Elizabeth ng’omuntu abadde ow’ekisa ekingi.
“A kind heartes queen- who was a friend to France” Macron
Ssaabaminister wa Canada Justin Trudeau agambye nti talina muntu mulala yenna abadde amusingira Nnaabakyala wa Bungereza, era nti bakusubwa nnyo enkola n’onkwata ye ey’ebintu.
“She was my favaurite person in the world- I will miss her so” Trudeau
Kabaka we Saudi Arabia king Salman agambye nti queen Elizabeth II abadde mukulembeze owokuntikko era abadde kyakulabirako eri obukulembeze obw’enjawulo mu byafaayo.
“Queen Elizabeth II a role model for leadership that will be immortalised in history” king Salman
Okukungubagira Nnaabakyala Elizabeth II kutandiae leero mu butongole era nga kusuubirwa okumala ennaku 10.
Bendera za Bungereza zewuubira wakati w’emirongooti mu Bungereza n’amawanga amalala agaaliko amatwale ga Bungereza.
Ku kitebe ky’omukago gwa Bulaaya ogwa European Union Commission mu Brussels ekya Belgium nayo bendera zewuubira wakati mu mirongooti.