
Mu kiseera kino bakyakuumibwa mu kaduukulu ka police ya Old Kampala, gyebagenda okugibwa okutwalibwa mu kooti ya Mwanga II.
Banakibiina kya DP nga bakulembeddwamu amyuka president w’e kibiina kino Dr Lulume Bayiga, baakwatiddwa police olunaku lwagyo okuva ku kitebe kye kibina kyabwe ,mangu ddala nga bakamala okwogerako ne banamawulire ku nteekateeka zebalina ez’okutereeza ekibiina.
Abakwatiddwa ye Samuel Walter Mukaku,David Kyakonye,John Bosco Mulinddwa, Patrick Ssekamatte, Godfrey Kaweesi, Micheal Mugganga ne Alex Ntale n’a balala.
Abamu ku banakibina kino bavumiridde ekyakoleddwa police nga bagamba nti tebamanyi gyegya buyinza kukwata bantu abagenda ku kitebe kyekibiina.
Herny Baziira Ssewanyana, ategezeza cbs nti senkagale wa DP Norbert Mao tasaanye kukozesa police kwonoona kibina kyabwe, wabula yasalawo okugenda aleke bannnakibiina abaasigala batambuze emirimu.
Wabula omwogezi wa DP Enock Okolero Opio agamba nti banakibina baddembe okugenda ku kitebe ky’e kibiina kyabwe nga bwebagala ,kyoka balina okumanya nti ekibina kirina amateeka kwekitambulira era agasanye okugobererwa.
Okuva president we kibina kino Norbert Mao bwelonddebwa nga minister wa ssemateeka n’essiga eddamuzi, obutakanya bweyongera mu kibiina kino, nga bannakibina bagamba nti tasobola kubeera minister mu government ya president Museveni gyebawakanya ate nasigala nga ye president w’ekibiina kyabwe.
Bisakiddwa: Lubega Mudashiru