
Police e Ntebbe ekutte abantu basatu beggalidde ng’ebalanga kwetaba mu lukwe lw’okwagala okubba emmundu ku mukuumi wa kampuni y’obwanannyini eya GKO security Group.
Omusirikale gwebabadde bagala okubbako emmundu abadde akuuma ku wofiisi y’eddongoosezo ly’amazzi erya National Water, ku kyalo Abayita Ababiri mu gombolola y’e Katabi mu district ye Wakiso.
Abakwate okuli Onen Can Peter, Lukori Samuel ne Orio Calvin kigambibwa nti bazze basendasenda omukuumi wa kampuni ya GKO security ataatuddwa mannya, nga baagala abawe ku mmundu babeeko omulimu gwebaggusa, naye kwekutemya ku police.
Abasatu bano olunaku lweggulo olw’okusatu omukuumi weyabaweeredde emmundu, era nebatandika okugikozesa mu bikolwa ebicaamu, wabula ab’ebyokwerinda baabadde baabeetoolodde olwo nebakwatibwa.
Omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango asabye abakuumi mu bitongole ebyenjawulo okusigala nga bayambako police n’amawulire abagituusa ku bakyamu nga bano.
Okusaba kuno wekujjidde ng’abaserikale mu bitongole by’okwerinda babadde balumbibwa nebabbibwako emmundu, ezikomekkereza nga zigenze mu mikono gy’abacaamu omuli abatemu n’ababbi.
Bisakiddwa: Kato Denis