Police mu bitundu by’e Masaka eriko abantu musanvu beekutte ku bigambibwa nti babadde beefudde mmo mu kukukusa abantu n’okubadyekadyeka okubafunira emirimu emirungi mu ggwanga n’ebweru.
Omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga agambye nti abakwate bakolera mu kkampuni ya Aim Global Alliance nga mwebabadde bayita okudyekadyeka banna Uganda nti okubafunira emirimu bagaggawale.
Abakwate kuliko; Enock Lubwama, Michael Buzibu, Manirahiri Domician, Ssekigudde Collins , Mulindwa Reagan , Namayanja Aisha ne Kasibante Tadeo.
Afande Enanga agambye nti kati banyiinyitizza omuyiggo ku ssenkulu wa Aim Global Alliance amanyiddwa nga Taremwa Moses eyataddeko kakokola tondekannyuma.
Kizuuliddwa nti abakwate babadde bakakungaanya abantu 308 nga kuliko n’abaana abato 17, abaasangiddwa nga batendekerwa mu Breton Hotel mu kibuga Masaka.
Enanga agambye nti buli muntu gwebabadde baperereza okubeegattako, abadde aggibwako ensimbi emitwalo 90.
Police egamba nti okusinga aba Aim Global Alliance abantu babadde babaggya mu bitundu okuli obuvanjuba , amasekkati wamu n’obukiika kkono bwa Uganda.
Minisita w’ekikula ky’abantu Hon Peace Mutuuzo, asuubizza okuwa abantu bano bonna ensimbi z’entambula badde mu maka gabwe.
Enanga agambye nti essaawa yonna abakwate bagenda kusimbibwa mu kkooti basomerwe emisango gy’okukukusa abantu n’okubaggyamu ssente mu lukujjukujju.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K.