Omusalamala abadde asala omuti gumugwiridde n’afiirawo, mu Kaliisizo Town council.
Omuvubuka ono ayitibwa Noeni Kizza nga kigambibwa nti yabadde avudde mu bitundu bye Busoga.
Ababaddewo ng’omuti gugwa bategezezza nti aliko emiti emirala gyeyasoose okutema, wabula ogumukubye gwegubadde gusembayo.
Bagamba nti abadde agumalirizza okugusala n’addukawo aguviire, wabula gyaddukidde wabaddeyo ssengenge amuteze naagwa, olwo omuti negumugwira naakalirawo.
Emiti gino gibadde kumpi ne police era abasirikale babadde banguye okujja bamutaase, basanze akaze.
Omulambo gutwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro lye Kaliisizo.
Bisakiddwa: Ssozi Ssekimpi Lwazi