
Toka Victor Given yaawangudde kifo ky’okukulira abayizi ( guildpresident) mu Nkumba University, amezze abalala 6.
Toka akola ssomo lya International Relations and diplomacy ali mu mwaka gwa kubiri.
Abadde yesimbawo ku bwannamunigina nga talina kibiina kyabyabufuzi kyamuwandako ddusu, era ng’adde atambulira ku kagaali ka maanyi ga kifuba okunoonya akalulu.
Okulonda kuno kwatandise saawa 2 ez’okumakya kukomekkerezeddwa ku saawa 11 ez’akawungeezi.
Abayizi 7 abavuganyizza kuliko Semambo Moris owa NUP,Andweyineho Aurther- NRM,Sharif Sebina- IND,Amon Muhweezi-IND,Lutakome Imran Kigongo-IND,Toka Victor Given-IND awangudde , ne Ngirabakunze Daniel- IND.
Bisakiddwa: Kakooza Georgewilliam