
Abantu babiri bafiiridde mu kabenje ka mmotoka akagudde e Kamonkooli ku luguudo oluva e Mbale okudda e Tirinyi, emmotoka mwebabadde batambulira etomedde ginaayo ebadde efiiridde ku luguudo.
Akabenje kano okugwawo kivudde ku mmotoka namba UAY 740 K Toyota Noah ebadde edduka, bwetomedde ekimotoka kya Sino Tuck namba UAS 427 P.
Abagenzi kuliko Khauka Alex owemyaka 24 era ng’abadde egenda kutikkirwa ku ttendekero lya Uganda Christian University n’omulala Siraj Gidudu owemyaka 50, ategeerekese nti abadde muzaddewe.
Omwogezi wa police y’ebidduka mu ggwanga Faridah Nampima agambye nti emibiri gy’ababiri bano gitwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Mbale.