
Ababundabunda abasukka mu 5000 bebaakayingira Uganda okuva mu Congo mu nnaku bbiri zokka, nga badduka okulwanagana okuliwo wakati w’abayeekera ba M23 n’abajaasi ba Congo.
Ababundabunda 1000 batwaliddwa mu nkambi zábabundabunda, abalala bakyabafunira ewokubeera.
Omubaka wa president e Kisoro Shafiq Ssekandi agambye nti embeera eri e Kisolo ya Bunkenke ddala,kubanga abayingira bangi ate nga balina okwekenenyezebwa.
Ekitongole ekidduukirize ekya Red Cross kikola buteddiza okuyamba abantu bano okubafunira eby’okulya n’okubafunira ewokusula.