Ababbi banyaze ensimbi ezisoba mu bukadde bwa shs 50 ku basuubuzi abatambuza ebyamaguzi ku mmotoka nga babiguza ab’amaduuka.
Obunyazi buno bubadde mu kabuga ke Kanoni mu district ye Gomba.
Kigambibwa okuba nga mu kubba ssente ezo, ababbi bakozesezza kalifoomu gwebaakubye omukyala abadde nensawo mwebatereka ssente zebatunze.
Abasuubuzi bano babadde batunda ebyamaguzi omuli engano, butto ne kalonda omulala, nga kigambibwa nti baabiggye ku store ya kampuni eya Nile Agro products mu kibuga kye Ntebe.
Eby’amaguzi babadde babitambuliza ku loole Tata number UBB 098 D nebagenda nga babisuubuza abamaduuka mu Gomba ne Busujju.
Bwebamaze okutunda ebintu byonna olwo kwekuweta baddeyo e Ntebe, nti kyokka bwebatuuse ku dduuka erimu mu kabuga ke Kanoni mu Gomba okuggyawo ssente zebintu byebaabalekedde, basanzeewo abaguzi bangi nga kiteeberezebwa nti mwemwelimbise omuguzi akubye kalifoomu omukyala abadde akwata sente ez’ebyamaguzi byebabadde batambuza ku mmotoka namukwakkulako ensawo n’a bulawo.
Ababaddewo balabye mukyala kugwa eri naazirika, era ng’ategerekese nti ye Kevin Nakisubi.
Bamuyoddeyodde n’addusibwa mu kalwaliro akali okumpi nebamuteekako eccupa z’eddagala nga takyategeera.
Omu kubatikkula ebyamaguzi ku mmotoka ya kampuni ya Nile Agro products nga ye Kateregga Awali, nga naye asangiddwa ku ddwaaliro munne gyaddusiddwa ategeezezza CBS nti kirabika Ababbi bazze babalondoola buli webagabye ebintu.
Kateregga Awali agguddewo omusango gw’obubbi ku police ye Kanoni era omuduumizi wa Police ye Gomba Erimu Richard agambye nti batandise okunonyereza ku bunyazi obwo.