
Ababaka ku kakiiko ka parliament akalondoola eby’ensimbi nookuteekerateekera eggwanga tebakaanyiza ku kiteeso kya government eky’okuvugirira kampuni ya Roko construction company eyobwannanyini n’obuwumbi 207.
Ababaka bakoze alipoota bbiri ezikontana, okuli ey’ababaka abatono ewakanya ekyogula emigabo mu kampuni eno,ne alipoota eyababaka abangi ewagira ebyokuwa kampuni eno obuwumbi 207.
Wiiki bbiri eziyise government yatwala okusaba mu parliament ng’eyagala egikkirize nti ekwate obuwumbi bw’ensimbi 207 , ebusige mu kampuni ya Roko ng’egulamu emigabo egiwera 150,000 egimanyiddwanga ‘prefferential shares’.
Government yategeeza nti eyagala kuyambako kampuni eno eri mu katuubagiro kensimbi ,olwamabanja agagiri obubi, nti singa teyambibwa eyolekedde okusaanawo.
Ku kika kyemigabo gino egya’ Preferential Shares’, kampuni bwetakola magoba, olwo government ebeera ssi yakufuna oba okununula ensimbi zeyasigamu.
Emigabo egimanyiddwanga ‘preferential shares’ ,bannanyini migabo bagabana magoba gokka kampuni geekoze. Ate bwetakola magoba olwo bannanyini migabo babeera sibakufuna ku nsimbi zaabwe zebaaasiga mu kampuni.
Alipoota y’ababaka abangi ekkiriza government okukwata obuwumbi buno 207 okubusiga mu kampuni ya Roko, ewomeddwamu omutwe ssentebbe w’akakiiko kano Dr Keefa Kiwanuka.
Mu alipoota yaabwe banyonyodde nti bakizudde nti government esaanidde okukwatirako kampuni eno okusinziira ku bizibu byensimbi byerina, ereme kusaanawo.
Alipoota y’ababaka abatono ,abakulembeddwamu Mohammed Muwanga Kivumbi ,basimbidde enteekateeka eno ekkuuli, balumiriza nti okusiga ensimbi mu kampuni eno nga tewali kwetegereza kukoleddwa okwomuggundu, kyabulabe nnyo eri ensimbi z’omuwi w’omusolo.
Bagamba nti mu kaseera kano nga kampuni ne business z’abantu abalala bangi ziyuuga nga n’endala ziggaddewo,tekiba kyabwenkanya government okuteeka ensimbi enkumu mu kampuni emu.
Ababaka bano banyonyodde nti tewali alipoota yonna government gyeyalaze akakiiko kano ekwata ku kunonyereza ku kampuni ya Roko construction, nookumanya obunene bw’ebizibu byerina ,nga tebanalowooza ku kya kugisigamu ensimbi.
Kinnajjukirwa nti minister omubeezi owebyensimbi Henry Musaasizi ,bweyali mu kakiiko ka parliament akabadde ketegereza okusaba kuno ,yategeeza nti ekyokusiga ensimbi zino mu kampuni eno kyali kiragiro kya mukulembeze w’eggwanga.
Kampuni yeemu kinnajjukirwa nti ng’eri wamu ne kampuni ya Finasi, government yajewolera trillion 1 n’obuwumbi 400, okuzimba eddwaliro lye Lubowa mu mwaka 2018,wabula nookutuusa kati terizimbibwanga.