
Ababaka ba parliament abava mu bitundu bya Buganda boolekedde bitundu bye Sango Bay mu Bukoto East e Masaka, ewategekeddwa olusirika lwabwe okwefumintiriza ku nsonga ezenjawulo ate n’okunonyereza ku buvuyo bw’ettaka obuli mu bitundu bino
Ssentebe w’akabondo k’ababaka abava mu Buganda era omubaka wa Butambala Muhammand Muwanga Kivumbi agambye nti bagala okukubaganya ebirowoozo ku nsonga ez’enkizo zebalina okukwatira awamu, ezikwata ku kitundu kyebakiikirira.
Agambye nti byebanajja mu lusirika luno byakubayamba okubeera n’eddoboozi limu mu ntambuza yaazo, n’okuzituusa mu parliament.
Kivumbi agambye nti waliwo n’enteekateeka za government ezinyigiriza Buganda ng’ekitundu ekisinga okubeeramu abantu abangi, nga n’olwekyo balina okuzekennenya n’okutuusa eddoboozi lyabwe mu parliament ku nosnga ezo.
Awadde eky’okulabirako ekya sente za parish development model, zagambye nti sizakuganyula bitundu bya Buganda, olw’emiruka gy’ekitundu kino okubaamu abantu abangi, so ng’ebitundu ebirala birimu abantu batono naye ng’omutemwa gw’ensimbi zebafuna zenkanankana.
Bisakiddwa: Ddodovico Mukasa