Parliament olunaku olwa leero lwegenda okulonda ababaka abanaakiikirira Uganda mu parliament ya East Africa EALA.
Uganda erina ebifo 9 era nga ekibiina Kya NRM kirinaki ebifo 6, aboludda oluvuganya government 2 n’abatalina kibiina 1.
BanaNRM abawandulwako eddusu kuliko,Akol Rose Okullu, Musamali Paul, Odong Goerge, Namara Denis, Kakooza James ne Mugyenyi Mary atte DP erinayo Gerad Silanda, FDC Harold Kaija, UPC Ebil Fred, JEEMA Mohammad Katerega.
Abatalina kibiina kwebajidde okuri Julius Bukyana, Kadogo Babirye Veronica, Amongin Jacquiline, Dr kapyata Dennis, Muwonge Daniel, Kiryowa Stella, Phiona Rwandarugali, Bwengwe Lauben, Kisembo Ronez Tendo, Muyinda Allan, Ambrose Murangira, Patience Naamara Tumwesigye n’abalala.
Abavuganya ku bifo bino baasigadde 27 oluvanyuma lwa munna PPP Jeremia Birungi Kamulali okuwanduka mu lwokaano.
Ekibiina kya National Unity Platform ekisinga ababaka abangi ku ludda oluvuganya government kyazira okulonda kuno era tekyaasimbawo muntu yenna.
NUP egamba nti akalulu kano kajuddemu obutali bwenkanya olwekibiina kya NRM okubeera nebifo ebisinga obungi .
Okulonda kuno kwakubeera ku Parliament ya Uganda, nga buli eyesimbyewo wakuwebwa eddakiika musanvu (7) okukuyega abalonzi n’oluvanyuma wabeerewo akalulu ak’ekyama.