
Police mu Kampala ekutte neggalira abavubuka 2, okubadde n’omugoba wa mmotoka ya Ambulance nnamba UAQ 814B, olwókwetabamu kwekalakaasa okumenya amateeka. Abavubuka bano babadde batambulira mu ambulance nga bataddemu ne keesi y’abafu.
Abakwatiddwa bebamu ku kibinja ky’abavubuka abékibiina ki The torture Survivors Movement Uganda, ababadde bagenze okwekalakaasiza ku kitebe kya Saudi Arabia mu Uganda.
Bemulugunya ku mbeera embi banna Uganda abakolera mu mawanga ga buwalabu gyebakoleramu.
Abavubuka bano bagamba nti banna Uganda bangi abagenda e Buwalabu okukuba ekyeyo, batulugunyizibwa nábamu nebafiiramu kyokka nti abakwatibwako tewali kyebakoze okumalawo ekizibu kino.
Abavubuka bano babadde nga 8, nga babadde bagenda kwekalakaasiza ku kitebe kya Saudi Arabia e Kololo mu Kampala, ne keesi y’abafu wabula babadde bakava mu mmotoka abasirikale ababadde mu ngoye za bulijjo nga balina némmundu nebabakwata.
Sharon Kemigisha, omu ku bawala abaakolerako mu mawanga ga buwalabu natulugunyizibwayo, era nga kati ye kansala we Wandegeya, agambye nti ssibakuweera okutuusa nga government ya Uganda n’ekitebe kya Saudi Arabia, baliko kyebakoze okutaasa banna Uganda ababonabonera ku kyeyo.
Omuwabuzi wa president ku nsonga zébweru wéggwanga Amb. Hajj Abbey Walusimbi ategezezza bannamawulire nti bateeseteese ensisinkano nabakwatibwako ensonga mu kisaawe ky’amefuga e Kololo ku Sunday nga 2 omwezi ogujja ogwa september, nga bakutandika neemisinde mubuna byalo, ezigendereddemu okulaga nti eggwanga lifaayo ku nsonga zabbansi abatulugunyizibwa, n’okusalira wamu amagezi okumalawo ebikolwa ebyo.
Bisakiddwa: Ddungu Davis