Akakiiko k’amaka g’Obwa president akalondoola ebyettaka kakutte abantu 4 abagambibwa okuba nti babadde abasirikale nebatigomya abantu ku ttaka eriri ku kyalo Nakiyanja ekisangibwa mu gombolola ye Nakisunga mu district ye Mukono.
Abakwate kuliko Byarugaba Micheal, Luja Hamuza,Kigundu Micheal ne Namwanje Halima , ababadde batambulira mu mmotoka ekika kya mark II NO.UBG 635K.
Okubakwata kiddiridde abatuuze okwekubira enduulu eri akakiiko, era aba kakiikonka state house ak’ettaka batuuse mu bwangu, naye abana olubabuuzizza ebibogerako nga abaserikale nga tebalina kintu kyonna, nebagombebwamu obwala.
Kitegeerekese nti ettaka eribakwasizza liriko enkaayana wakati wa abenju y’Omutuuze Musa Mwanje ne Sebakijje lule, kyokka omutuuze omulala ategeerekeseeko erya Makanga naye ettaka lino agamba lirye.
Ndaisaba Deo nga yaakulembeddemu akakiiko okuva mu maka g’Obwa president avumiridde abantu abegumbulidde okukumpanya ettaka nga beeyita kyebatali, naawera okufafaagana nabo.#