Abantu 9 ababadde baajeema okusasula sente zookuyoola kasasiro okumala emyezi mwenda bazisasulidde mu kkomera.
Abatuuze bano bamu kabuga ke Bulo mu Butambala.
Town council ye Bulo yayisa buli alina edduuka okusasula shs 2500/= buli mwezi, wabula bano omwenda neberema, okutuusa lwebaakubwa mu mbuga z’amateeka.
Oluvannyuma lw’okumala ennaku ku alimanda nga baggaliddwa mu kkomera e Kabasanda, bwebazeemu okulabikako mu maaso g’omulamuzi betonze era nebategeeza nti waliwo kansala abadde abawubisa ng’abajeemesa okusasula.
Balagiddwa okusasula emyezi 6 egibadde gibabanjibwa, ate nebalagirwa n’okusasula emirala 6 egyomumaaso.
Akulira kampuni eyakwasibwa omulimu gw’okuyoola kasasulo mu Bulo Nkuubi Jamir avumiridde bannabyabufuzi abalemesa emirimu okutambula, so ng’obukyafu bubakoseza wamu, omuli n’okuleeta endwadde.
Bisakiddwa: Patrick Sserugo