
Abaana abawala abazaala nga tebaneetuuka mu bizinga by’e Ssese guli waggulu, abasinga bali wakati w’emyaka 12 ne 17.
Abaana bano basinga kubeera ku mwalo gw’e Kasekulo ogusangibwa mu ggombolola y’e Mugoye mu ssaza ly’e Ssese mu district ye Kalangala.
Ssentebe wa Buganda Youth Council mu Ssese Mwanje Daniel,abadde mu musomo ogwategekeddwa abavubuka ba Akeezimbira ne BYC ku ddwaliro e Kasekulo, n’agamba nti ensonga yaabaana abazaala nga tebanneetuuka yetaaga okukwatibwa n’amaanyi, naddala okubatusaako eby’obulamu n’obujanjabi obusaanidde.
Ssese erina amagombolola 6 ne Kalangala town council, nga gakolebwa ebizinga 82.
Ku bizinga bino byonna kuliko amalwaliro 16 gokka,nga gano gaku ku bizinga 64 byokka okuli H/C II 7, H/C III 7 ne H/C IV 2.
Namirembe Leeya Namanda omusawo akulira Kasekulo HC II agamba nti basanga okusomoozebwa olw’abaana abatanetuuka abafuna embuto, nga tebalina buyambi bwakulabirira baana olw’abasajja abazibafunyisa okubaddukako.
Mu ngeri yeemu agambye nti buli kaseera bafuna abantu abapya bebatamanyi bwebayimiridde ku nsonga za mukenenya.
Abavubuka ba Akeezimbira bamaze ennaku nga bali mu bizinga e Kasekulo, okwekennenya embeera bavubuka bannaabwe gye balimu, n’okubatwalira ebintu ebyeyambisibwa mu bulamu obwa bulijjo.
Minister w’abavubuka mu Buganda Owek.Henry Ssekabembe Kiberu asabye abaana abawala abaazaala nga tebanneetuuka, nti baleme kwekyawa kuba bwe beekyawa, tebajja kukuza bulungi baana abo.
Abaana abawala mu bizibu bye balombojjedde minista mwe mubadde; Abasajja ababazaalamu ne babaddukako, abamu babafunyisa embuto nebazegaana.
Abamu bagambye baalimbibwa emirimu e Kampala kyokka ne beesanga nga batwaliddwa ate mu bizinga birala nga tebasobola kweggyayo ne basalawo okufumbirwayo.
Abamu bagambye nti bakkiriza okukwanibwa abasajja olwembeera yoobwavu gye balimu.
Abalala bagambye nti abasajja baabasuubiza okubawasa kyokka bwe baamala okubakozesa ne babaddukako n’okusoomozebwa okulala kungi kwebasanga.
Abavubuka ba Akeezimbira baliko ebintu byebatonedde ba maama bano abato, bibayambe mu bulamu obwa bulijjo.#