
Alipoota y’omwezi gwa June 2022 ku kikukusa bantu, eraze nti abakunukkiriza mu 60 bebaakukusibwa okutwalibwa mu mawanga ga buwaarabu.
Abaana abato bebaasinze okukusibwa,abasinga baavudde Mbale waliyo emisango 18 egyawaabiddwa, Kampala 11, Mubende 19, Kabale 9, Entebbe 7.
Alipoota eraze nti abazadde n’abantu abalina akakwate ku baana abato bakoze kinene mu kusikiriza abaana okukusibwa, olwokwagala okufuna ensimbi.
Akolanga omukwanaganya w’enteekateeka ezirwanyisa okukukusa abantu mu ggwanga Agnes Igoye, ategeezezza bannamawulire ku kitebe kya police ekikulu e Naggulu, nti okulwanyisa obuzzi bw’emisango ku bisaawe by’ennyonyi ne ku nsalo ya Uganda n’amawaga amalala kwongeddwamu amaanyi.
Igoye mungeri yeemu alabudde ku bukodyo obupya obukozesebwa abakukusa banaabwe, nga Kati bakungaanyizibwa okuyita mu ”groups”
ezikolebwa ku Facebook ne ku Whatsapp.
Wiiki ewedde waliwo abaana basatu abali wakati w’emyaka 13 -14 ab’essomero lya Greenhill academy baazuulibwa mu bitundu by’Entebbe nga kigambibwa nti waliwo abaali baluse olukwe olubuzaabuza abaana bano babakukuse, nga babasuubizza nti bagenda kutandika okufuna ensimbi nga bayita mu kukola emirimu egyenjawulo ku mitimbagano.
Okusinziira ku alipoota ekwata ku kikukusa abantu eya 2021, yaliga nti omuwendo gw’abantu abakukusibwa gwali guli waggulu ddala ku bitundu 96.7%.
Bisakiddwa: Kato Denis