
Abaweereza ku mitendera egyenjawulo mu Bwakabaka bwa Buganda basabiddwa okukola emirimu gy’Obwakabaka awatali kwegulumiza yadde okukaayanira obukulembeze.
Bino bibadde mu bubaka bwa Katikkiro bw’awadde abaami b’Amagombolola mu Buganda mu nsisinkano ebadde ku Muganzirwazza e Katwe.

Ensisinkano eno egendereddwamu okwongera okulambika abaami ba Kabaka ab’amagombolola okumanya obuweereza n’obuvunaanyizibwa bwabwe.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti obuweereza obutaliimu nkaayana, n’abakulembeze okumanya obuvunaanyizibwa bwabwe webukoma, y’entabiro y’Obuweereza Obulungi n’enkulaakulana mu mirimu gya Ssabasajja.
Katikkiro asabye abaweereza mu bitongole by’Obwakabaka okutambulira awamu n’abaami ba Ssaabasajja awatali kulwanagana, mungeri eyenjawulo naasaba ensobi eziba zikoleddwa zigonjoolwenga mu nkola y’obwasseruganda.
Minister wa gavumenti ez’ebitundu mu Bwakabaka era ssabawolereza wa Buganda Owek Christopher Bwanika,agambye nti ensisinkano y’abaami b’amagombolola egguddewo essuula mpya eri Obuweereza mu Bwakabaka, neyeeyama okusigala nga alambika abakulembeze ba Beene ku mitendera gyonna.

Minister Omubeezi owa government ez’ebitundu Owek Joseph Kawuki, asabye abaami ba Kabaka okugumira okusomoozebwa mu Buweereza, n’agamba okusomoozebwa kubawa enkizo okutuukiriza ebiruubirirwa byabwe.
Abaami ba Ssabasajja abamagombolola abeetabye mu musosomo guno ,bagambye gubayambyeeko okumanya enkola y’emirimu, era nabo nebasaba Obwakabaka bubayambeko mu bimu ku bibasomooza mu buweereza.
Bisakiddwa: Kato Denis