
Kizuliddwa nti efujjo, ettamiiro, amakubo amafunda, ebinnya mu nguudo, n’obutateeka bupande ku makubo, by’ebimu ku binokoddwayo ebiviiriddeko obubenje okweyongera ku makubo ensangi zino.
Ebiwandiiko bya police biraga nti omwaka gwa 2021, ku bubenje 4,159 obwagwawo mu ggwanga, obubenje 1,390 bwali buva ku Boda-boda ku makubo, ssonga 528 bantu baabulijjo abatambuza ebigere.
Kino kiwalirizza abasawo abakola ku by’okulongoosa abalwadde mu kibiina ekya Uganda Surgeons Association, okutandika kawefube okusomesa aba abagoba ba Boda-boda n’abavuzi bebidduka abalala okwewala obubenje.
Abamu ku bagoba ba Boda-boda abasoose okuganyulwa mu musomo guno, oguyindidde ku Fairway Hotel mu Kampala, beemulugunyizza ku kizibu ky’abamu ku basawo abalongoosa, okusalawo mu bugenderevu okutema amagulu gabannabwe ababa baaagudde ku bubenje nti olw’okuba bavuzi ba Boda-boda.
Dr Kigonya Victor, omukugu mu by’okulongoosa abalwadde era memba mu kibiina ekya Uganda Surgeons Association, (USA), omu kubakulembeddemu okusomesa mu misomo gino, annyonyodde amakubo agagobererwa mu kulongoosa abagudde ku buzibu n’okutuuka okusalawo okutemako okugulu oba omukono gw’omuntu abeera agudde ku kabenje.
Esther Bayiga, nga mukugu mu by’okunonyereza ku bubenje okuva ku Makerere University, agambye nti abagoba b’ebidduka balina okwongera okugondera ebiragiro byamakubo, okubeera neebisanyizo, n’okwewala okukozesebwa ba kasitoma babwe ababalagira okubanguyaako batuuke mangu gyebabeera balaga, ekiyinza okubaleetera obuzibu ku makubo.
Bisakiddwa: Ddungu Davis