Entanda ya Buganda etuuse ku mutendera oguddirira ogusembayo, era bonna abayitawo baakutuuka butereevu mu Lubiri okumeggana mu Fayinolo y’entanda omunaava Omuzira mu Bazira.
Mu kiro kya nga Thursday, abamegganyi babiri bawanduse, babiri nebasuumusibwa.
Abamegganyi Luyinda Deziderio eyafunye obugiba 14 ne Tebuuseeke Gerald eyafunye obugoba 12 baasuumusiddwa ate Boogere Richard eyafunye 9 ne Kyeyune Richard 2 baasigalidde.
Bino byebibuuzo kakongolazziga ebyabuuziddwa.
1. Waliwo Omuzimu bazira Kabaka gweyawa ettaka e Vvumba mu Bulemeezzi, yaani? – Kawalya Fred.
2. Olugero olugya mu nnyinnyonnyoal nti amaddu agatali mafuge gasuula nnanyigo mu buzibu – amaddu amangi gassa emmese e Masajja.
3. Biki abaganda byebawanuuza nti bwobikolera omuntu akukyawa – Okufukirira omuntu mu ngalo ngabadde agenda okulya emmere n’okuwa omwagalwawo amagi.
4. Nnamasole wa Kabaka eyatandikirwako ekisoko Okusinsiza ejjimbi ekitegeeza okujeema – Naggujja.
5. Omuganda amayembe g’ente agawa rinnya ki eddala? Amagombe.
6. Waliwo omuganda lwawanuuza nti empewo egenze kukima maanyi, kino kibaawo ddi? @ Ssinga empewo efuuwa ng’eva ku lukalu ng’edda ku nnyanja.
7. Ekitiibwa eky’enjawulo ekiweebwa omukulembeze w’enzikiriza y’Abadventi – President.
8. Amannya g’abantu agava mu ngero – erinnya Ssebuliba liva mu lugero ki? – Ssebuliba bw’ambwa tebabuleegerwa ku kyalo.
9. Emmandwa webagisingira tesula, amakulu ag’ebusiba – Omuntu bwaweebwa byayagala agenderawo.
10. Enteeko ng’okyesigamizza ku balongo -Ekibbo omwalulirwa abalongo.
11. Eggye eryava e Tanania mu 1979 ne lisiguukulula government ya Amiina lyali liyitibwa litya? – Uganda National Liberation Front.
12. Erinnya ly’omukazi w’empewo eyitibwa Najjakulera – Nnabinene.
13. Amannya ag’obuntu ag’omukulu w’abalangira b’e Ssanje – Paul Lutayinzibwa Kalema.
14. Bwebakulagirira obutiko obubaala ng’eddagala naye nga tobulina okola ki? – Weeyambisa enkaja yaabwo.
15. Abalunnyanya balina ekigambo okuduumya, kitegeeza ki? – Omuvubi okuzza ekyennyanja ekito kyaba akutte mu mazzi.
16. Okuba mu Gwobusami kisoko, kitegeeza ki ogwebusami – Nneemagaza.
17. Entebe y’ensujju omuganda yagiwa linnya ki? – Nnawunu.
18. Enjawulo mu bigambo mu buyizzi, amakeera n’obuwa – Amakeera byebibumba by’omusu ate obuwa bwebusubi obulagirira abayizzi.
19. Ennyumba ya Katikkiro Sir Apollo Kaggwa yagutuuma linnya ki? – Basiima.
20. Ekintu kyebabumba olwokunyookerezaako akabaani kiweebwa linnya ki? – Akooterezo.
21. Ddi okukaaba kwa nnamunyeenye lwekuba okwomuzizo – Bwakaabira mu nju ekiro.
22. Ebigambo bibiri ebitegeeza okuwayira kw’omumbejja.- Okuliraanwa oba okukuumwa.
23. Ekiganda ky’enkejje kibaamu enti mmeka? – Kkumi.
24. Olugero: Obulamu kyekiwango – akiina baabutiko.
25. Ensolo zebayita enjiri zekweka mu birobo, ebirobo kye ki? – Ebinnya mwezeekweka mu ttaka.
26. Ebiwanuuzibwa biraga nti Ssekabaka Cchwa Nabakka yalina lubuga – Tuwe amanya asatu. Nakiwala, Kwamagezi Nabachwa.
27. Ekigambo ekirala ekitegeeza okukongoola – Okuwema.
28. Enteerere oba enteeko kika kya mutuba gweguliwa – Omutuba omuto nga mutereevu bulungi nga tegunnatuuka kuyimbula.
29. Olugero: Nnakawere akankana – ng’alabye amuweereza.
30. Omwana omuwere alina kuba nabbanga ki balyoke batandike okumunaaza ekyogero? – Ennaku mwenda.
31. Entebe Nnamulondo eya Kabaka Mulondo ekuumwa abataka bana – tuweeyo BASATU, Mwotassubi, Lukwazi ne Kiwukyeru.
32. Mu lulimi oludda kukukomaga kiki kyebayita olulere? – Ekikuta ekiyimbuddwa ku muti ekigenda okukomagibwa.
33. Amaliba ga Kabaka tebagaleega ku mmambo, bagaleeta ku ki? – Ku bikondo wa ggulu.
34. Empalabwa teziboggola nga mbwa, okuboggola kwazo kuwebwa linnya ki? – Kuwuluguma.
35. Olugero: Kangende nfumbire abaana – Bwerigwa mu ttaka yaasooka okulya.
36. Ekisoko okwogererea ku kizigo kitegeeza ki? – Okwekyawa.
37. Kizira okusekulira mu kinu ekirimu olwatika, bwokisekuliramu kiba ki? – Nnyini makaa ago afa.
38. Ekita ekyeyambisibwa okukimiramu amazzi kiweebwa linnya ki? – Ekitawu.
39. Olugero: Bwolaba omuwuulu aliko entumbwe – ng’asula mwajjajjaawe.
40. Omuntu eyeetuze ajjibwako emikolo gyonna egikolebwa ku muntu afudde, asigaza mukolo ki? – Okumuziika.
Bikuŋŋaanyiziddwa: Kamulegeya Achileo K.