
Abantu babiri bafiiridde mu kabenje akagudde e Mityana mu kiro ekikesezza leero, n’abalala babiri bakoseddwa.
Akabenje kagudde ku kyalo Katakala Mityana municipality, mmotoka kika kya misitubish Fuso namba UBJ 649M, abadde etisse emiti eyabise omupiira.
Abavubuka 2 ababade batudde waggulu ku miti gibagwiridde nebafiirawo, okubadde Kalabasi Allan n’omulala ategerekeseko lya Rajab nga mutuuze we Kikumbi.
Ate ababiri abalumiziddwa babadde mummotoma endala eya buyonjo,emiti negibagwira.
Omwogezi wa police mu bitundu bya Wamala Racheal Kawala agambye nti emirambo gitwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro ekkulu e Mityana, n’abalumiziddwa batandise okufuna obujanjabi.
Bisakiddwa: Alice Naggirinya