Omulabirizi wa West Buganda Henry Katumba Tamale yoomu ku bantu ba Ssaabasajja Kabaka abagabye omusaayi mu ssaza Mawogola, mu nteekateeka eyawomwamu omutwe ekitongole kya Kabaka Foundation.

Okugaba omusaayi leero kuyindidde mu goombolola ya Ssaabawaali Mijwala ne Mutuba I Lugusuulu.
Omulabirizi agabidde mu Gombolola ya Ssaabawaali Mijwala .
Omulabirizi Tamale agamba nti ebintu ng’obutabanguko buli wantu, entalo ,wamu nookuvugisa ebidduka ekimama ebiyinza okuviirako abantu okiyiwa omusaayi, bisaanye okwewalibwa mu ggwanga lino .
Mu ngeri yeemu yeeyanzizza Ssaabasajja Kabaka olw’enteekateeka eno egendereddwamu okukuuma abantu nga balamu bulungi.

Omwami wa Kabaka atwala esaza Mawogola Muteesa Muhammad Sserwadda ategezeza nti bannamawogola bagenda kwongera amaanyi mu kuteekesa mu nkola ebiragiro bya Kabaka, omuli n’okugaba omusaayi.
Bisakiddwa: Nakato Janefer