
Akakiiko akalwanyisa enguzi mu maka g’obwapresident aka Anti Corruption Unit ne police bakutte abakungu ba government 5 mu district ye Bunyangabu ku bigambibwa nti babadde benyigira mukulya enguzi n’okubulankanya ssente za government.
Abakwate kuliko Principal Human Resource Officer, Ikiriza Lucy ono akwatiddwa ku bigambibwa nti yassa abasomesa 3 ku lukalala okusasulwa abakozi ba government mu bukyamu.

Abagambibwa okutekebwa kulukalala ye ye Kiiza Joselyn, Mucunguzi Kasangaki ne Achan Winnifred ,era kigambibwa nti district efiriddwa obukadde obusoba mwa 50 mu kusasula abasomesa abempewo.
Abalala abakwatiddwa ye Basaliza Joseph District Production Officer ne Asiimwe Yusta avunanyizibwa ku by’obulimi mu District, nga kigambibwa nti ensigo n’ensimbi ezaawerezebwa okuva mu government ezisukka mu bukadde 90 okulakulanya abantu ba bulijjo, abakulu baakolamu byabwe.

Rugumba Elon, eyali ow’egombolola Kabonero mu district ye Bunyangabo naye akwatiddwa ku bigambibwa nti yawa kontulakiti eri kampuni etalina bukugu okuddukanya emirimu gya government.
Abakulu mu kakiiko ka Anti Corruption Unit bategezza cbs radio yobujajja nti enkola y’okuvunaana abakungu ba government abakola emirimu gaddibengalye nabenyigira mu bulyake yakugenda maaso okwetoloola eggwanga.
Bisakiddwa: Lubega Mudashiru