
BannaDP munaana bakwatiddwa ku kitebe kyékibiina kyabwe ku baalintuma road, ku bigambibwa nti babadde basaalimbira ku kitebe mu bumenyi bwámateeka.
Abakwatiddwa babadde bakulembeddwamu omumyuka wa president wa DP atwala Buganda Dr.Mike Lulume Bayiga ne munnabyabufuzi omulala Samuel Walter Lubega Mukaaku.
Abakwate bebamu ku bakulembeze ba DP abawakanya ekya president wabwe Nobert Mao okwegatta ku government ya NRM, era naweererezaayo nga minister wa ssemateeka néssiga eddamuzi.

Gyebuvuddeko Lulume ne banne baliko akakiiko kábantu 13 kebaalonda nga bagamba kekagenda okutereeza ekibiina kyabwe, era bawakanya néndagaano eyakolebwa president wabwe Nobert Mao ne Ssaabawandiisi Gerald Ssiranda ewaayo DP okukolegana butereevu ne NRM.
Enkya leero Lulume nábalala babadde bakedde ku kitebe okubaako emirimu gyebakakkalabya, wabula abakuuma ddembe tebabaganyizza kuyingira kikomera ewali ekitebe kya DP.
Police ebakutte nebawalawala nebatwala ku police ya Old Kampala.

Omwogezi wa police mu Kampala némiriraano Patrick Onyango agambye nti abakwatiddwa bagenda kuggulibwako omusango gwókusaalimbira ku kitebe kya DP nékigendererwa ekitamanyiddwa.
Akulira ebyamawulire mu wofiisi ya Presidenti wa Dp Fred Mwesigwa agambye nti abakuuma ddembe abaateekebwa ku kitebe kya DP, baawebwa ebiragiro obutamala gakkiriza ba member ba DP abatalina mulamwa mutuufu gubaleeta ku kitebe okumala gasaalimbirawo.
Alabudde ba memba ba DP okuyita mu bakulembeze bébitundu byabwe bwebaba balina ensonga zebaagala okutuusa ku kitebe, sso ssi kumala gasaalimbirayo.