
Abadde omubaka wa president e Kayunga era eyali omwogezi w’Obusiraamu Hajji Nsereko Mutumba Mungu gw’ajjuludde mu kiro ekikeeseza olwa leero.
Hajji Nsereko Mutumba afudde addusibwa mu ddwaliro e Lubaga.
Omu ku bawala b’omugenzi ategezezza CBS nti kitaabwe olumbe lumugwiridde mu kiro, wabula n’abafiirako mu mmotoka nga bamutwala mu ddwaliro.
Ssentebe wa district ye Kayunga Andrew Muwonge agambye nti okufa kw’omubaka wa president kubakubye enkyukwe, nti kubanga olunaku oluyise olwa Tuesday, Nsereko Mutumba yakoze bulungi emirimu gye nga bulijjo awatali kulaga nti yabadde mulwadde.
Awadde eky’okulabirako nti omugenzi yakyaliddeko n’ebibiina by’abakyala mu Kayunga ababadde bemulugunya nti tebanaganyulwa mu nsimbi za government ez’okukulakulanya abantu eza parish development model.
Ba Masheikh abaaweerezaako n’Omugenzi ku muslim Supreme Council bagambye nti baviiriddwako omuntu abadde owenjawulo mu kwagala obusiraamu, n’okukola obuteebalira.