
Obwakabaka bwa Buganda bujaguzza emyaka 29 egya Ssaabasajja Kabaka Muzzangoma Ronald Muwenda Mutebi II ng’alamula ensiiye.
Emikolo emikulu jibumbujidde mu Lubiri e Mengo, gitambulidde ku mulamwa gubadde gwakulwanyisa Mukekenya mu Bizinga nga abaami bebasaale.
Ssabasajja Kabaka mu Lubiri ayaniriziddwa Kamalabyonna wa Buganda, Munnamateeka Charles Peter Mayiga, Kaggo Agnes Nakibirige Ssempa n’amwanjulira amakula.

Oluvannyuma Omutanda alamusizza ku Mujjaguzo era nayolekera Ekiwu nga akulembeddwamu ab’ekika ky’e Mbogo abamukongojja, bwatyo n’akkalira ku Namulondo ya bajajjaabe.

Omutanda asiimye nayogerako eri Obuganda ku matikkirwage, n’alagira abantube bongere amaanyi mu kulima emmwanyi, ate bazongereko Omutindo olwo baziganyulwemu ekiwera..
Maasomooji agambye emmwanyi kirime kikulu nnyo mu Bwakabaka ne mu Uganda eyawamu, mu kawefube w’okulwanyisa obwavu mu bantu.
Nnyininsi agambye nti ebibiina by’obwegassi byakuyamba nnyo okulima mu bungi, okusuubula,n’okukuuma omutindo gw’emmwanyi.
Nnamunswa yeebazizza abakulembeze ku mitendera egyenjawulo abaliko kyebakoze mu kutaakiriza emmwanyi.
Beene ayagala wabeewo embeera esobozesa abalimi okufuna ebikozesebwa ebituukiridde mu bulimi,omuli okufuna endokwa ez’omutindo, n’ebijimusa, ate n’okusaawo enkola erondoola ebbeyi y’emmwanyi mu ggwanga.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu bubakabwe alambuludde ebikulu ebituukiddwako mu myaka 29 nga Beene ali ku Namulondo.
Muno mulimu abantu okutegeera ekitiibwa kya Nnamulondo, olulyo olulangira, n’ebyafaayo by’obwakabaka, n’emirimu egyenjawulo egikolebwa Obwakabaka.

Katikkiro agambye nti buli kimu ekituukiddwako kireeteddwa obumu n’Okusoosowazibwa kw’abavubuka.

Omukubiriza w’Olukiiko lw’abataka Namwama Augustine Kizito Mutumba agambye tebagenda kulekerera Ssaabasajja mu kutumbula ebyobulamu nga bayita mukukolera awamu ng’abataka.
Muno mulimu okusomesa abazzukulu ku nsonga azenjawulo nga basinziira mu nkiiko z’ebika n’ebyoto.
Omutaka Mutumba agambye nti mu kiseera kino ng’abataka, bali ku kawefube w’okulungamya abazzukulu ku nteekateeka zonna ezigobererwa ku mikolo gy’okabya ennyimbe nga bagobererwa obuwangwa n’ennono.

Omulabirizi w’Ekanisa ya Seventh Day Adventist Church Central Uganda Conference Omusumba Samuel Kajoba nga yakulembeddemu Okusaba, asabye omutonzi okuwangaaza Beene.
minister w’ensonga z’ebweru wa Bunyoro Phillip Katahoire nga yakiikiridde Omuhiikirwa Andrew Byakutaaga agambye nti, enkolagana eriwo wakati w’Obwakabaka ne Bunyoro nyweevu ddala, olw’entekateeka ezenkulaakulana eziri mu bukulembeze bwombiriri.
Maasomooji mukusooka yatongozza ebifaanaynyi bya bassekabaka 31.
Katikkiro Charles Peter Mayiga ategezezza Omuteregga nti waliwo ebifaananyi by’abassekabaka babiri ebikyabuze naye nga bikyanoonyezebwa.
Ekifaananyi kya Ssekabaka Ssuuna nakyo kyali kyabula, era nga kibadde kyakazuulwa mu bitundu bye Zanzibar nekireetebwa mu bbanga lya wiiki bbiri eziyise.
Katikkiro agambye nti ebifaananyi ebyo kuliko ebyabassekabaka 5 ebyakubwa ku camera, ng’ebisigadde bisiigiddwa nga byesigamizibwa ku buwandiike obwassibwa mu bitabo ebyenjawulo nga binnyonyola endabika ya bakabaka abo ey’obwenyi n’enkula y’emibiri gyabwe.
Ebifaananyi bino bisiigiddwa Simon Peter Bwanika ne Wasswa Lumu.
Beene asiimye n’agabula Obuganda n’ennyama enjokye, era naalamusa ku mujaguzo, kyokka olw’embeera y’ekirwadde ki lumiima mawuggwe Ssaabasajja olwa leero takongojjeddwa.
Wabaddewo okunyanyagiza ebivuga ebya buli ngeri omubadde aba Madinda, ab’entongooli n’amakondeere, engoma nebivuga ebyabuli ngeri, ennyimba z’abayizi b’amasomero n’ekitontome ekikwata ku bulwadde bwa siriimu.
Omukolo guno gwetabiddwako Nnabagereka, abalangira n’abambejja, bannalinnya, Ssabalangira , Ssaabaganzi. Bajjajja abataka ab’Obusolya.
Ba Katikkiro abaawummula Owek.Dan Muliika n’Owek J.B Walusimbi ,ba minister ba Ssaabasajja n’abaami b’amasaza, ab’amagombolola, bassenkulu b’ebitongole by’Obwakabaka betabye ku mukolo.

Katuukiro wa Busoga Joseph Muvawala ne phillip Katahoire minister w’ensonga z’ebweru w’Obukama bwa Bunyoro babaddewo.

Bannadiini babaddewo okuli Ven. Canon Godfrey BK Buwembo, Supreme Mufti Muhamadi Galabuzi, Msgr Charles Kasibante, Yeronmous Mzeei n’Omulabirizi Samuel Kajoba owa Adventist church era yakulembeddemu okusaba ku mikolo gino.
Minister wa technology n’ebyempuliziganya Joyce Juliet Nabbosa Ssebuggwawo akiikiridde government.

Mu ngeri yeemu omukolo guno gwetabiddwako eyaliko omumyuka w’Omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi.

Abakulira ebibiina by’obufuzi ekya NUP Robert Kyagulanyi Ssentebe n’ekya ANT Gen Mugisha Muntu,ababaka ba parliament abakulembeddwamu Owek.Mathius Mpuuga Nsamba,ba ssentebe ba district, ba mayor ne ba kansala babaddewo.



Omukolo gw’Okujjukira amatikirwa aga 29 guwagiddwa Airtel Uganda, DFCU Bank, Bank of Uganda, Uganda Breweries limited, CBS FM, BBS Terefayina, Uganda Red Cross Society,UNAIDS.
Bisakiddwa: Kato Denis ne Kibuuka Fred
Ebifaananyi: Kirumira Musa