Ofono Opondo omwogezi wa government ng’ayimiridde mu maaso ga Lord Mayor Erias LukwagoOluvannyuma lwa ssenkulu w’essengejjero ly’amawulire ga government Ofono Opondo okusiwuuka empisa ku program ya T.V ng’ensi yonna eraba, abamu ku bannabyabufuzi bavumiridde enneeyisa eno gyeboogeddeko nti teraga bugunjufu!
Zephania Ofono Opondo P’Odelo yalumbye lord mayor Erias Lukwago mu ngeri y’okwagala okumukuba, bwebaabadde bakubaganya ebirowoozo ku program ya NBS TV eya Frontline ku mbeera y’akakulu akaabadde e Soroti.
Omuloodi Ssaalongo Erias Lukwago agamba nti n’okutuusa kati talina bigambo ku nsonga eno kubanga kyamuyitiriddeko.
President wa National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu “Bobi Wine” agambye nti ekikolwa kya Opondo kyennyamiza nnyo, n’asaba nti kyandibadde kirungi amateeka negamukolako.
Rt. Dr. Kizza Besigye agambye nti ye teyeewuunyizza Opondo kweyisa bwatyo nti kubanga ezo z’embeera ze.
Omumyuka w’omwogezi wa NUP Waiswa Mufumbiro, agambye nti Opondo yetaaga okwetondera Loodi mmeeya mu bwangu ne banna uganda bonna okutwalira awamu olw’ekikolwa kino.
Wabula omutunuulizi w’ebyobufuzi era omukubaganya w’ebirowoozo ku TV lukulwe, Charles Rwomushana agambye nti Opondo kirabika baabadde bamucookozza kubanga musajja mukkakkamu nnyo, ng’emirundi mingi bazze bamusosonkereza n’asirika nti naye kirabika ku luno kyamususeeko.
Mu programu eno, mwabaddemu bannabyabufuzi; Loodi mmeeya Erias Lukwago, eyakulirako oludda oluvuganya government mu Parliament Nnaalongo Winnie Kiiza, minisita w’amawulire n’okulungamya eggwanga Chris Baryomunsi ne Ofono Opondo.
Wadde nga program yabadde yakatandika ekiseera kitono, olw’embeera eyabaddewo awo weyakomye nga Ofono Opondo alumbye Lord Mayor.