Ministry y’ebyentambula n’enguudo eyagala obuwumbi bwa shs 21 n’obukadde 500, zigiyambeko okulwanyisa obubenje obususse ku nguudo.
Minister omubeezi ow’ebyentambula n’enguudo Musa Ecweru aliko ekiwandiiko kyateeseteese okwanjulira parliament olwa leero, okuteekesa mu nkola entegeka zekoze okulwanyisa obubenje.
Okusinziira ku alipoota ya ministry eno, ensimbi obuwumbi 5.5 zakukozesebwa okumanyisa bannansi ebikwata ku mateeka agafuga ebyentambula n’enguudo.
Akawumbi 1 nekitundu nti kakuzesebwa okugula emmotoka ezirawuna enguudo naddala zimwasa njala ,obuwumbi 3 bwakukozesebwa okukwasisa ebiragiro mu ntambula eyolukale
Obuwumbi 5 bwakukozesebwa okutegeka emisomo gyábagoba b’ebidduka, enkozesa y’enguudo n’ebikwata ku byentambula.
Ku lwokubiri lwa wiiki eno, omubaka omukyala owa district ye Masaka Joan Namutaawe yasaba parliament ewalirize ministry y’ebyentambula ebuulire eggwanga, ku nteekateeka zeerina okukendeeza obubenje ku nguudo obufuuse baana baliwo
Alipoota ya police ey’omwezi gwa June 2022, yalaga nti abantu 366 bebaafiira mu bubenje obwenjawulo, songa abalala abasoba mu 1000 baafuna ebisago obwava ku bubenje.
Ebibalo bya police era biraga nti kumpi buli lunaku abantu 12 bebafa mu Uganda olwobubenje bwokunguudo.