Omulamuzi wa kooti enkulu ewozesa bakalintalo e Kololo taddewo olwa nga 28 July, 2022,okutandika okuwulira emisango egivunaanibwa ababaka Muhammad Sseggirinya ne Allan Ssewannyana ne banabwe abalala 4.
Ba puliida b’ababaka bano nga bakulembeddwamu loodi Mmeeya Erias Lukwago, basabye kkooti egobe okusaba kwa government, mwebadde eyagalira okuwulira omusango gwabwe okugira nga kwongezebwayo okumala omwezi omulala mulamba nti bamale okweteekateka obulungi.
Omuwaabi wa government mu musango gw’obutujju ogw’aggulwa ku babaka abadde ayagala kkooti esooke egiyimirize, basooke bazuule abajulizi bonna nti kubanga kino tekyasoboka mu kusooka olw’obuzibu bw’ebbula lya ssente.

Kkooti enkulu ewuliriza emisango gya bakalintalo e Kololo etandise okutekateeka obujulizi bwonna bwegenda okukozesa okuwulira emisango gy’obutujju egivunaanibwa abantu 6, kwekuli nababaka abo.
Ababaka Ssegirinnya ne Sewanyana babadde ku mutimbagano gwa zoom okuva ku kkomera e Kigo, ate banaabwe abalala 4 bwebavunaanibwa baleeteddwa mu kkooti e Kololo okuva mu kkomera e Luzira gyebakuumibwa.
Omulamuzi Jane Aldviza yali mu mitambo gyokutekateeka omusango guno, era enjuyi zonna zibeera zirina okuwaayo kalonda yenna owobujulizi eyetagisa, ate olwo oluvannyuma omulamuzi nasalawo enkwata y’omusango.
Omuwaabi wa Government Richard Birivumbuka ategeezezza kkooti nti abajulizi bebagenda okuleeta m musango oguvunaanibwa ababaka, bava mu bitundu bye Masaka era nti balina okuweebwa obukuumi.
Agambye nti kkooti elina okubakkiriza bagende mu bitundu bye Masaka okubafunako obujulizi, nga kino kiyina kukolebwa mu nnaku 30.
Mu misango gino egyobutujju Ababaka bavunaanibwa okuteekateeka ebijambiya wakati wa May ne June omwaka gwa 2021,abantu abasukka 30 nebattibwa.
Ababaka bano baggulwako emisango egyenjawulo okuli; obutujju, ettemu nokugezaako okutta, ngera bali mu nkomyo okuva September omwaka 2021.
Baagezaako okusaba okweyimirirwa wabula nebammibwa omukisa ogwo, kkooti ng’egamba nti singa bayimbulwa kyangu okutataaganya okunonyereza mu misango gino.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam