
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naalabikako eri Obuganda mu Lubirirwe e Mengo, ku mukolo ogw’ebyafaayo ogw’amazalibwage ag’emyaka 67.
Ssabasajja ayingidde Olubirirwe e Mengo ku ssaawa Mukaaga ezomuttuntu, ayaniriziddwa Katikkiro wa Buganda Owek Charles Peter Mayiga.
Amazaalibwa ga Nnyininsi Sseggwanga gakuzibwa buli nga 13 April, wabula omwaka guno teyaliiwo yali mitala wa mayanja, n’asiima gikuzibwe olwa leero.
Ssabasajja asiimye naakwasibwa amakula g’emmotokaye kika kya Rolls Roy’s eyazziddwa obuggya, nga yavugibwanga Kitaawe Ssekabaka Sir Edward Muteesa II.
Sseggwanga asiimye naalambula olukiiko oluddaabirizza mmotokaye, olubaddeko Omuk John Fred Kiyimba Freeman, Omulangira David Kintu Wassajja, Omuk Joseph Magandaazi, Omuk Emmanuel Katongole, Godfrey Kirumira n’abalala.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu bubakabwe agambye nti emikolo gyonna egy’okukuza amazaalibwa ga Kabaka omwaka guno, giri ku mulamwa ogw’okwongera omusomesa abantu ku bulwadde bwa siriimu.
Gatambulidde ku mulamwa ogugamba nti abasadde tubeere basaale mu kulwanyisa Mukenenya tutaase abaana abawala.
Katikkiro mu ngeri yeemu aloopedde Beene olugendo lw’okuzza emmotoka ya Ssekabaka Sir Edward Muteesa II Rolls Roy’s Fantom IV, eyali yatwalibwa government ya Milton Obote.
Mu emmotoka eno government eriko mu kiseera kino yagiddiza Obwakabaka era kati esaza.bulungi ddala.
Ssabasumba wa Eklesia ya Orthodox Jeronymos Muzeeyi nga yaakulembeddemu okusaba ,yeegayiridde Omutonzi okukuuma Ssabasajja, era naasaba ebikolebwa emikonogye byonna bibeere bya bibala.
Minister omubeezi owa tekinologiya mu government eyaawakati Owek Joyce Juliet Nabbosa Ssebuggwaawo agambye nti bingi Obwakabaka byebukyabanja government eyawakati, kyokka nategeeza nti akadde konna ebibanjibwa ebirala byakudda.
Ssabasajja Mu ngeri eyenjawulo Asiimye nakwaasa musajjawe Prof Godon Wavamunno Kasibante Babala ejjinja eryomuwendo, olwobuweereza obusuffu bwakoze mu Bwakabaka emyaka egisukka mu 50.
Ebifaananyi: Musa Kirumira