
President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni asabye banna byamizannyo bulijjo okuberanga eky’okubirako nga bewala okukozesa ebiragalalagala, omwenge n’obwenzi basobole okusitula ebitone byabwe n’obutafirwa biseera byabwe eby’omumaaso.
President Museveni bino abyogeredde ku kisaawe e Kololo bwabadde asiibula ttiimu ya Uganda, egenda okukika mu mpaka za Commonwealth Games ezigenda okubeera e Bungereza n’empaka za World Athletics Championships ezigenda okubeera mu America.

Mukyala wa president era nga ye minister w’ebyenjigiriza n’ebyemizannyo Janat Kataha Museveni, asabye abazannyi abagenda okukiikirira Uganda mu mpaka zino,okukuuma empisa ate bewala n’okubulira mu mawanga ago nga abamu ku banaabwe bwe bazze bakola.
Minister Janet Museven akinogaanyizza nti olw’okuba nti government eyongedde ensimbi mu byemizannyo, bingi ebisuubirwa okutuukibwako.
Empaka za Commonwealth Games zigenda kuberawo okuva nga 28 July okutuuka nga 8 August 2022 mu kibuga Birmingham.
Uganda egenda kutwala kibinja ky’abantu 140 okuli abazannyi abasoba mu 80 nabakungu abasoba mu 40, era ekibinja kyakusitula nga 20 omwezi guno ogwa July.
Omuzannyi wa ttiimu ya Rugby Phillip Wokorach yalondeddwa nga captain wa ttiimu eno, wakumyukibwa Peace Proscovia captain wa ttiimu y’okubaka.
Uganda mu mpaka zino egenda kuvuganya mu mizannyo 11 okuli abaddusi 18, abawuzi 4, para Swimming 1, abavuzi b’obugaali 2, Squash 2, Badminton 8, ekigwo 2, abasituzi b’obuzito 3, Table Tennis 4, ebikonde 6, emisinde 18, Rugby 14 n’okubaka 12.
Ate mu mpaka za World Athletics Championships ezigenda okuberawo okuva nga 15 okutuuka nga 24 July mu Eugene Oregon mu America, Uganda egenda kukiikirirwa abaddusi 17.
Cheptegei yalondedwa ku bwa captain wa ttiimu era bano bagenda kusitula olunaku olw’enkya nga 12 July 2022.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe